Uganda etuuziza olukungaana lw’omukago gwa Non Aligned Movement(NAM) olw’omulundi ogwe 19, ng’olumu ku nkungaana ez’amaanyi mu nsi yonna era nga government egamba nti Uganda yakufunamu nnyo.
Omukago gwa NAM gulimu amawanga agawerera ddala 120, era nga gano galimu abantu ebiweza ebitundu 55% ebya bantu bonna abali ku nsi kuno.
Wabula wadde guli gutyo olukungaana luno banna Kampala abawerako basigadde bemulugunya olw’enguudo ezisibiddwa, abantu babwe abaakwatiddwa, ennyumba zisendeddwa n’ensimbi ezaayiriddwa mu kutegeka olukungaana luno.
NAM kibiina ekyatandikibwawo mu 1961 okutaba amawanga agaalina endowooza nti ensi yali yeyawuddemu ebiwayi bibiri, ngekimu kyali kiwagira Amerika ne banywanyi baayo ba Naasiwamukange awamu naabo abaali bekubidde ku ludda olwali lukulemberwa Russia olwalina enkola eya ba Naakalyakaani
Embeera eno yeyasinga okuleetera amawanga agamu agaali tegaagala kulaga ludda, okwegattira mu mukago Ogwa Naampawengwa ogwafuuka NAM.
Olutalo wakati wa North Korea ne Soouth Korea nalwo lwaviirako amawanga okwongera okweyawulamu, nga North Korea ewagirwa oludda lwa ba Nakalyakaani ate nga South Korea ewagirwa mawanga aga Nasiwamukange.
Amawanga agakulemberamu NAM okussibwa mu nkola mwemwali India eyali ekulemberwa Jawaharl Nehru, Egypt eyali ekulemberwa Gamal Abdel Nasser, Ghana eyali ekulemberwa Kwame Nkrumah, Yugoslavia olukiiko olwasooka gyelwatuula nga yali ekulemberwa Field Marshal Josip Broz Tito ne Indonesai eyali ekulemberwa Sukarno.
Wabula emyaka bwegigenze giyita, amawanga mangi nga mwemuli ne Uganda, gagenze gegatta ku mukago guno, n’okusingira ddala agavumirira enkola za America ne Russia.
Eggwanga nga Cuba waliwo lweryalemererwa okuvumirira Russia olw’ okulumba Afghanistan, nga kino kyaletera ba memba ba NAM abalala okusazaamu Cuba okukyaza olukiiko olwatuula mu 1979.
Wabula ensangi zino NAM ezze eyisa ebiteeso ebivumirira enkola za Amerika ne banywanyi baayo, nga mwemuli ekya NAM okwagala enkyuukakyuka zikolebwe mu bitongole nga ekya Banka ye Nsi yonna(World Bank) awamu n’ekivunaanyizibwa mu kulondoola ebyenfuna bye nsi (International Monetary Fund), wabula ku nsonga ng’ezivumirira obutujju awo bonna bogera olulimi lwe lwemu.
Omukago gwa NAM gwasaawo obukiiko obwenjawulo obwetongodde obulondoola ensonga ez’enkizo mu nsi, ng’e nsonga eza Palestine, Somalia, enoongosereza mu kibiina kya mawanga amagatte ne nsonga endala nyingi ezigulumbya ensi.
Ku lunaku lw’olukungaana lwa NAM oluyindira ku Speke Resort Munyonyo Kampala Uganda ensonga y’okuteesa ku lutalo oluli mu Gaza, wakati wa Israel n’abalwanyi aba Hezbola mu Palastine lwassiddwako essira olw’ekitta bantu ekigenda mu maaso mu kitundu ekyo .#
Bikungaanyiziddwa: Lukyamuzi Joseph