Nabakungula Vanessa Hunnah munnabuddu y’awangudde obwannalulungi bw’ebyobulambuzi mu Buganda 2023 /2024.
Avuganyizza n’abawala abalala 17 abaasuunsuddwa okuva mu masaza gonna aga Buganda.
Empaka za miss Tourism Buganda 2023 ziyindidde ku Club Ambience e Bukesa mu ssaza Kyadondo.
Zetabiddwako Omumbejja Victoria Nkinzi abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno.
Empaka zino zetabiddwako ne minister wa Buganda ow’abavubuka, eby’emizannyo n’okwewummuza Owek.Henry Moses Ssekabembe Kiberu

Nabakungula Vanessa Hunnah azze mu bigere bya Sydney Nabulya Kavuma abadde miss tourism Buganda 2022/2023, era akyali Nnalulungi wa Uganda yonna ow’eby’obulambuzi.#
Bisakiddwa: MK Musa