Ekivvulu ky’Omusiime Omuyimbi Mesach Ssemakula ekya Mesach @46, kyajjuzza abawagizi n’abalala bangi baafiikidde.
Zaagenze okuwera essaawa 12 n’ekitundu ng’ekifo kyonna ewategekeddwa ekivvulu ku Serena hotel kijjudde nga n’abalala bayimiridde.
Emmeeza zokka ezaabadde zaasasuddwa obukadde bwa shs obusatu obusatu, zezaabadde zikyaliko ebifo nga zirinze bannyini zo.
Wabula ng’ekivvulu kisemberera okuggwa Mesach Ssemakula yetondedde abawagizi be n’agamba nti waliwo abantu abaacupudde ticket, ekyaleetedde omujjuzo okuyitirira.
Okuva ekivvula lwekyatandika okulangibwa abantu baatandikirawo okugula ticket okuyita ku nkola ya mobile money ne mu bifo ebyenjawulo ebyassibwawo okugulibwamu ticket, so nga waliwo n’ababadde bazigulira ku mulyango.
Ticket zabadde shs 100,000, 300,000 n’obukadde bwa shs 3 buli meeza.
Essaawa zaagenze okuwera omwenda ez’olweggulo ng’abantu batandise okuyingira Serena naddala abaabadde basuubira okugula ticket ku mulyango
Abantu abaali baagula edda ticket okuyita ku ssimu ne mu bifo ebirala bebaasinze okusoomozebwa, bazze kawungeezi nga bamanyi nti kasita baagula dda ticket, ebifo baasaanze bijjudde nebayimirira abalala baafikidde ebweru.
Ku ssaawa 1 n’eddakiika 46 bakalabaalaba b’omukolo Abby Mukiibi ne Sarah Kabenge baalinnye ku siteegi nebaguggyako akawuuwo, nga naaba Fenon events bwebawawula ebidongo.
Ku ssaawa 1 n’eddakiika 53 Mesach Ssemakula n’atuuka ng’awerekerwako abawala abazinyi aba Rita Dancehall.
Yasabuukuludde endongo n’oluyimba olwa Thank you my people,Ndeka nkole ebinyumira, sibalirira, sitya bigambo,Abantu bekengere, bweyatuuse ku ka Kankutendereze abantu baasituse mu butebe nebawanika emikono okwebaza Katonda, nga bwebakoolobya naye.
Mesach yafukamidde neyebaza omutonzi olwabantu okujja mu bungi ate nokumuwagira ebbanga lyonna.
Yayongedde okuyimba ennyimba endala okuli Abakazi abaguma, Ntongo,My Best ku luno yasitudde mukwano gwe bwebaabonabona mu ntandikwa kati omubaka wa parliament owe Kakuuto Geofrey Lutaaya n’omukyala Irene Namatovu nebabibyamu, enduulu netta abalabi.
Yagenze mu maaso neyewolayo oluyimba lwa Goefrey Lutaaya oluyitibwa ‘Walaayi Oli Miss’ n’alukomekkereza ng’awanyeemu ku mukyala we ‘Nakaayi Oli Miss’
Yayimbye n’oluyimba lw’omugenzi Jimmy Katumba oluyitibwa ‘ Abantu Lwaki Temuyiga’ era eyaluwandiika nga yeyali meneja wa Katumba Owek. John Katende camera nezimusika ku ntimbe ng’ateddeko akamwenyumwenyu ku matama.
Kusaawa 2 n’eddakiika 50 ez’ekiro yayanirizza omugenyi we omutongole era ow’enjawulo Mzee Moses Matovu owa Afrigo band.
Mu kitundu ekisooka yasembezaayo okuyimba oluyimba olwa Ani mukwano gwo, n’asembyayo Omwana wa Muteesa olwawerekeddwa abazinyi b’engoma enganda.
Mu ssaawa 3 n’eddakiika 6 Omusiime Mesach n’alyoka ava ku siteegi.
Bakalabaalaba abazeeko ye Zambaali Bulasiyo Mukasa ne Ray P nebalyoka batandika okuyimba abayimbi abalala abaawerekedde ku Mesach Ssemakula, era buli omu obwedda ayimbayo ne ku luyimba lwa Mesach lumu.
Recheal Namiiro eyingidde noluyimbalwe Nkuwa love, naddirirwa Carol Nantongo, Moreen Nantume eyagidde wakati mu nduulu ey’oluleekeleeke nga baamwaniriza nakayimbake aka ‘Nange Nkuze’.
Evans Kaweesa eyakubwa ennyondo yazze n’akayimba aka Wandibaawo entandikwa n’ayongera okusaanuula abawagizi, kwekuyimbayo naka Mesach keyatuuma Rita Guma.
Catherine Kusaasira yazze ne Ssi ddogo endongo n’akaluulu nebyongera okusaanikira Serena nga bw’abigula ng’ali kumasanyalaze, olwo nazaako Nkuyitenga linnyaki wano mikwanogye okuva mu kibiina ky’ebyobufuzi ki NRM nga bakulemberwa eyali Mayor we Nsangi Haji Abdul Kiyimba n’abalala nebalinnya ku stage okumufuuwa.
Kibigigiri naye kwejuyingirawo ng’atonnya mmooli, naddirirwa Irene Namatovu ne African Woman,ne Okuzaala kujagaana.
Ronald Mayinja yaleese Nazaalibwa mukazi Mwavu, ne Landlord.
Mangu ddala Eddie Yawe nayingirawo ne Kati Onoba, ako kaasitudde omubaka wa Kampala Shamim Malende, Muhammad Ssegirinnya ne Dr Bbosa owa Ebonies okwolekera siteegi okufuuwa Eddie Yawe n’okunyeeya ku galiba enjole, kweyayongedde oluyimba lwa Gira tukiggale ne Neteze.
Haruna Mubiru Kitooke ku saawa 3 n’eddakiika 38 nalinya ku stage ne nsula sebase n’endala,
David Lutalo yazze ne Eat Zoote, kabisi ka ndagala ne amazima wampangula aka Mesach.
Atagejja atakogga Jose Chameleone kwekuyingirawo ne Kuuma obwesigwa, Baaliwa nayongerako Maama looda, ng’eno abawagizi bayimbira wamu naye, n’ayongerako Kipeepewo naluyimbako katono nnyo,olwo nasumulula Jamira.
Ku ssaawa 5 n’eddakiika 23 Mesach yakomyewo ku siteegi nga byayambadde byonna biddugavu,
n’ayingira n’ayingira n’oluyimba lwomugenzi Herman Basudde ‘Mulibabi nkukkuluma.
Yazizaako Tukwegomba bangi, First Aid,Taliiyo akusinga empisa,Kabirinnage wange,Njagala nga bwendi, bweyatuuse ku luyimba lwa Wasa mukwanogwo, kwekuyimiriza mukyalawe Sarah Nakaayi n’amulaga abawagizibe.
Ku saawa 6 n’eddakiika 4 ez’ettumbi n’ayise omuwandiisi w’ennyimba Nakinku omusiime Paul Ssaaka , ajaguza emyaka 33 ng’awandiikira amasomero ennyimba, n’asaba abawagizi bakomewo ku Serena hotel nga 11 June,2023 bawagire Ssaaka.
Ebyo olwawedde nasumulula Kyalimpa ne Nina omukwano gwange.
Mesach wano weyannyonyoledde ekyaviirako Abbey Mukiibi okumukuba omusupi ku happy Land theatre e Kibuye,yebazizza Mariam Ndagire,Kato Lubwama,n’abayimbi abalala bonna batobye nabo.
Minister wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda yasiimye abajumbidde ekivvulu.
Abaana be nabo bebazizza abawagizi ba kitabwe, nebakakasa nti singa ssi bbo oba olyawo tebandisomye, okwo kwegatiddwako ne mikwanogye abetuuma ba Papanians nabo bamuwadde ekirabo.
Yetondedde abantu abaafikidde ebweru n’abalemereddwa okuguna ebifo era ekivvulu ekyatutte essaawa 6 n’ekitundu baakimazeeko bayimiridde.
Mesach Ssemakula ng’aggalawo ekivvulu yawadde Bukenya Magidu pikipiki okuva mu Simba Automotive abamu ku bavugiridde ekivvulu.
Yebazizza kampuni endala ezaamuyambye mu ntegeka z’ekivvulu okuli BBS Terefayina, CBS FM,Beat fm,Fenon promotions,Papaz spot Makindye,MTN ne simba Automotives
Mu kiseera Kalabaalaba w’omukolo Abby Mukiibi weyasabidde abantu nti nga batuuse okufuluma bafulume mpolampola okwewala okwerinnya n’okwenyigira ku miryango olw’abantu abaabadde abangi.
Mesach Ssemakula yaggaddewo n’ennyimba Onkuba ne siggwe ansiimira tompalampa ffala naawe………….
Mesach @ 46 concert nga nkulabira!
Bisakiddwa: Tamale William