Kooti ejulirwamu ekakasizza ababaka ba parliament basatu nti okulondebwa kwabwe ku bifo ebyo kwali kutuufu.
Ababaka bano kuliko owa Bukomansimbi North Christine Ndiwalana Nandagire, Komaketch Christopher owa Aruu ne Moses Walyomu owa Kagoma mu district yé Jinja.
Mu musango gwa Ndiwalana Nandagire, kkooti ejulirwamu ejunguludde ennamula ya kkooti enkulu eyasooka okusazaamu obuwanguzi bwe, ngérumiriza nti teyasoma kimala.
Ruth Katushabe bwe baavuganya ku kifo ekyo yali alumiriza nti empapula za Ndiwalana eza S.6 njingirire.
Wabula abalamuzi 3 aba kkooti ejulirwamu Geoffrey Kiryabwire, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake mu nnamula yabwe bagambye nti Katushabe teyawaayo bujulizi bumala, kukkaatiriza nsonga ze.
Dr Ndiwalana abiibizza ku galiba enkole,oluvannyuma lwénnamula eno, era asuubizza abé Bukomansimbi nti ke kadde okubaweereza nga talina nkenyera yonna.
Ate mu musango gwa Christopher Komaketch, Odonga Otto yali awaabye nti Komaketch teyasooka kulekulira ku mulimu gwa government ngómusawo mu ddwaaliro lyé Butabika, wabula kkooti ejulirwamu bino ebisambazze.
Kkooti yeemu ejulirwamu eyongedde okunyweza ennamula ya kooti enkulu e Jinja, eyakakasa obuwanguzi bwa Walyomu Moses ku kyómubaka wa Kagoma.
Fred Munyiira bwe baavuganya ku kifo ekyo, yali alumiriza nti Walyomu teyasoma ate yagattako nókubba obululu.
Kkooti e Jinja omusango yagugoba wabula Munyiira teyamatira, kwe kuddukira mu kkooti ejulirwamu, nayo egugobye olwóbujulizi obutawera.