Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atuuzizza Omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Southern California, Arizona ne Hawaii, Owek. Fred Ssennoga Makubuya n’olukiiko lwakulembera nalwo.
Omukolo gubadde ku Hilton Hotel, Woodland Hill e Los Angeles mu America.
Abalala abali ku lukiiko olutongizeddwa ye Hudson Joloba Omumyuka w’Omubaka, Judith Katasi Muwandiisi, Prof. Bere Sensalo Sipiika, Ssaava Karim Nsubuga wa byannono.
Ba memba ku lukiiko luno ye Charles Lubwama, Brian Minge, Richard Sensalo, Robinah Miers, Balamu Mudde ne Shiek Masanso.
Katikkiro abakubirizza okukola Kabaka by’atugamba awatali kwetya, n’asaba ne bannabyabufuzi okukubiriza abawagizi babwe okunyiikirira okukola, kibataase okusuubulibwa abafere b’ebyobufuzi.
Katikkiro bategeezezza nti kaweefube yenna akolebwa mu Buganda agendereddwamu okuggya abantu mu bwavu n’okulinnyisa omutindo gw’embeera gye balimu.
Owelek. Joseph Kawuki, Minister atwala abaami ba Kabaka obutereevu, asiimye Omugenzi Owek. Joseph Ssemakula Ndugwa, olw’okuteekateeka obulungi abantu b’essaza lino, abavuddemu abaweereza abalungi abagenda okulitwala mu maaso.
Omubaka omuggya aweze obutatabiikiriza byabufuzi mu buweereza bwa Kabaka, bonna batambulire wamu.
Omukolo gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wassajja, Baminisita: Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja, n’Owek. Joseph Kawuki, Omutaka Nsamba, n’abantu abalala bangi.#