
Obwakabaka bwa Buganda busiibuludde abayisiraamu abakungaanidde mu Bulange e Mengo,bakulembeddwamu supreme mufti sheik Muhammad Shaban Galabuzi.
Ku mukolo guno Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,abalambise ku bukulu bw’okutambulira awamu mu bantu ba Kabaka awatali kwawula mu ddiini wadde amawanga, nti yentabiro yénkulaakulana.
Abakubirizza okukola ennyo n’obutatiiririra Namulondo.
Katikkiro agambye nti okukolagana mu bantu ba ssabasajja lyekkubo abantu bonna mwebagenda okukulaakulanira, era nti kino ssabasajja yalagira dda kyongerwemu amaanyi.
Asabye abakulembeze ku mitendera gyonna okubeera abasaale mu kulwanyisa mukenenya, nga bagoberera ekiragiro kya Beene.
Supreme Mufti Sheikh Muhammed Shaban Ggalabuzi mu bubakabwe eri abakkiriza, essira alitadde ku bafumbo n’abantu okunyweza Obwesigwa okumegga akawuka ka Mukenenya.
Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Haji Ahmed Lwasa ,asabye abazadde abasiraamu bulijjo okuyigiriza abaana eddiini wamu n’ennono zaayo, n’Okwongera okubaagazisa Allah.
Sheikh Muhammed Kisuule nga yoomu ku basoose okubuulira, ayogedde ku bigendererwa ebyenjawulo ebiri mu kusiiba omuli okugumiikiriza n’Okuyiga obwerufu, naasaba abaddu ba Allah okubeera ekyokulabirako mu nsoga z’ekisiibo.
Sheikh Abdul Walusimbi nga yaakulira Sharia mu wofiisi ya Super Supreme mufti,asabye abasiraamu obutasuulawo nnono zabwe nÓbuwangwa nebasigala ku ddiini yokka, nti kubanga byonna bitambulira wamu.

Omukolo guno gwetabiddwako omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof.Twaha Kawaase,ba jajja abataka aboobusolya, abaami bámasaza, ba minister mu government ya Beene, ababaka ba parliament Loodi meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ne ba meeya bámagombolola agakola Kampala, n’abantu abalala bangi ddala.






