Akakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government aka COSASE kasazeewo okuyita eyaliko minister weby’ettaka nga kati ye Kaliisoliiso wa Government Betty Olive Namisango Kamya Turyoomwe, anyonyole ku ngeri gyeyeewa olukusa oluliyirira abantu government beyali eguzeeko ettaka.
Bino byonna byakolebwa Betty Kamya akyali minister weby’ettaka, bweyasaba parliament obuwumbi bwensimbi 10, okuliyirira abantu 6 abaali babanja government.
Ensimbi zino kinnajjukirwa nti parliament eye 10 yeyaziyisa era zaaliko okusika omuguwa okwamaanyi, wakati wa minister Betty Kamya ne Beatrice Byenkya Nyakayisiki eyali ssentebe w’akakiiko ka Uganda Lands Commission.
Wabula Ssabalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga mu alipoota ekwata ku kakiiko kebyettaka eyomwaka gwebyensimbi 2020/2021, alaga nti ensimbi zino zaasasulwa mu bukyamu.
Beatrice Byenkya Nyakayisiki asinzidde mu kakiiko ka parliament aka COSASE, naagamba nti ensimbi zino akakiiko keby’ettaka tekaazisabaako,eyali minister Betty Kamya yeyawandiikira ministry of finance ng’azisaba.
Abantu abaasasulwa ensimbi zino kuliko Kasiya Rwabukkurukuru owe Sheema obuwumbi 6 n’obukadde 430, Nagenda Stephen Peter owe Kibaale Bwanswa akawumbi 1, Busuulwa owe Buyaga akawumbi 1 nobukadde 400, Natalia Namuli owe Buyaga Kibaale akawumbi 1 n’obukadde 600, Yisika Lwakana owe Buyaga Kibaale akawumbi 1 n’obukadde 125, Saako Mugisha owe Buyaga Kibaale akawumbi 1 n’obukadde 149.
Beatrice Byenkya Nyakayisiki abuulidde ababaka nti kwaliko omuntu omu yekka omutuufu eyalina okuwebwa ensimbi abalala baali bampewo.
Nyakayisiki agambye nti ensimbi zino zezimu kwezo ezaamuviirako ebizibu byalimu mu kiseera kino.
Kino kyekiwaliriza ababaka okusalawo okuyita kaliisoliiso mu kiseera kino Betty Kamya anyonyole ku vvulugu ono.
Andrew Nyumba omuwandiisi Uganda Lands Commission abuuulidde ababaka, nti ensimbi zino zezimu kweezo ezaavaako okunonyereza okwenjawulo okukolebwa mu kiseera kino ebitongole okuli ekya CID ne Kaliisoliiso yennyini.
Kino kyewunyisiza ababaka engeri omuntu eyenyigira mu mivuyo gyokufuna ensimbi zino, ate gyayinza okuba nti yanonyereza ku mivuyo gye gimu.