Government etandise okulowooza ku nnongosereza ezetaaga okukolebwa mu ssemateeka w’eggwanga, okuddamu okulambika obukulembeze bwa sipiika wa parliament.
Embeera eno evudde ku maloboozi agazzeewo, luvannyuma lwa Jacob Oulanyah okufa nebategekerawo okulonda anaamuddira mu bigere nga tanaba nakuziikibwa wadde okumukungubagira mu butongole.
Ssemateeka w’eggwanga ennyingo 82(4) ekugira palament okubaako omulimu gwonna gwekola, singa ekifo kya sipiika wa parliament kisigala nga kikalu.
Ennyingo ya ssemateeka eno, eragira palament okujjuza ekifo kino mu bwangu nga tenabaako nsonga yonna gyekolako.
Obulippo awamu n’obukwakulizo bwa ssemateeka w’eggwanga buno eyabagibwa mu mwaka gwa 1995, byaleetedde abantu okukubaganya ebirowoozo abamu nebakirambika nti bukontana n’ennono zeggwanga, eziwa bannansi omuvunanyizibwa n’omukisa okukungubagira abantu babwe ababa bavudde mu bulamu bwensi.
Parliament mu kiseera kino tesobola kubaako lutuula lwonna lwetuuza okukungubagira omugenzi Jacob Oulanyah.
Oulanyah yasookedde ddala okufiira mu ntebbe ya sipiika, ba sipiika ababaddewo bagenze bamalayo ebisanja byabwe.
Okuva Oulanyah lweyafa, ababaka ba palament abenjawulo okuli bannaNRM 13 ,nga neyabadde omumyuka wa Oualanyah ,Anita Among baamaze dda okwesowolayo okusikira Jacob Oulanya, era kakuyege wamaanyi.
Thomas Tayebwa nampala wa governement mu parliament agamba nti oluvanyuma lw’okuziika Jacob Oulanyah bakukyogeramu,obukulembeze bwa parliament buddemu bulambikibwe,nti kubanga kwaleseewo omusomooza kunene eri eggwanga.
Yadde sipiika wa parliament ye nnamba satu mu bitiibwa by’eggwanga, ssemateeka takkiriza mumyuka we kumiddira mu bigere bwaba afudde okugyako nga wabaddewo okulonda.
Ye omukulembeze weggwanga nnamba emu w’eggwanga bwafa, ssemateeka weggwanga alagira nti omumyuka we yaaba amuddira mu bigere okumala ebbanga lya myezi 6.
Era mu myezi egyo okulonda omukulembeze w’eggwanga mwekulina okukolebwa.