Bazzukulu ba Nsamba ab’eddira Engabi be bannantameggwa b’empaka z’ebika by’abaganda eza 2025.
Bawangudde bazzukulu ba Lwomwa ab’Endiga ku ppenati 6 : 5, oluvannyuma lw’okugwa amaliri ga goolo 2 : 2 mu ddakiika 90.
Engabi Ensamba yeddiza engabo omulundi ogw’okubiri ogw’omuddiriηanwa, mu 2024 ne 2025.
Omupiira gunyumidde mu kisaawe e Wankulukuku.