Endwadde ezitasiigibwa omuli entunnuunsi, Kokoolo wa Nnabaana , akatungulu mu baami zeyongedde okuseensera abatuuze mu Nansana division mu district ye Wakiso
Bino bituukiddwako mu lusiisira lw’eby’obulamu olumaze ennaku 3 nga lubumbujjira mu kitundu ekyo, omubadde okukebera abantu n’okubajanjaba endwadde ez’enjawulo.
Joakim Tulyatunga ssenkulu wekitongole kya Generations Care and Medical Reach out abawomye omutwe mu lusiisira luno nga bali wamu ne woofice ya meeya wa Division ye Nansana, awadde abakyala amagezi okwettanira okwegemesa akawuka ka HPV akaviirako okusaasaana kwa kkookolo w’Omumwa gwa Nnabaana, saako endwadde endala ezigemebwa.
Agambye nti kaweefube bagenda kumwongera kukusomesa abantu okwewala ebirwadde ebitasiigibwa, okuli endya esaanidde, okukuuma obuyonjo, okukola dduyiro n’ebirala.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo