Ssaabalabirizi Dr. Samuel Stevens Kazimba Mugalu Mboowa ayambalidde abakulisitaayo abefudde mmo mukulemesa enkulaakulana y’ekanisa.
Agamba pulojeketi nnyingi zigaanye okutambula obulungi naye ekizibu Kiva mubakulisitaayo abazisimbira nakakongo atte nebakyamya n’abalala.
Ssaabalabirizi abadde akulembeddemu okusaba kw’okwebaza Katonda olw’ekanisa ya Kamaanya Three matyrs Church of Uganda mubusumba bwe Bunamwaya mubusaabadinkooni bwe Nateete okuweza emyaka 50 bukyanga butandikibwawo.
Ssabalabirizi Kazimba era mweyanymivu olw’abamu ku bazzukulu ba bantu abawaayo ettaka eri ekkanisa, nti esangi zino abakulembeddemu okusuuza ekkanisa ettaka bajjajjababwe lyebaawaayo eri omulimu gwa Katonda.
Owek. Dr Canon Guster Lule Ntake nga yabadde omugenyi owenjawulo ku mukolo guno akubirizza abakulisitaayo okukozesa talanta katonda zeyabawa okugasa ekkanisa.
Kasirye Steven omukubiriza w’ekkanisa eno akaatirizza nti mu myaka 50 balina bingi byebatuuseeko okusitula omulimu gwa Katonda.
Hon Ssempala kigozi Ssajjalyabeene asabye ekkanisa okwongera amaanyi mukusitula obuweereza bw’abaana , okusobozesa ekkanisa okusigala nga ekyali y’amaanyi.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo