Akakiiko ka parliament akasunsula n’okwekeneenya president baabeera awadde obukulu kasunsudde Omulamuzi Dr.Dagalous Singiza ku kifo kya ssentebe w’akakiko k’eggwanga akalondoola essiga eddamuzi ka Judicial service commission
Akakiiko Kano akalondoola essiga eddamuzi kekawabula omukulembeze w’eggwanga ku bantu abalina okulondebwa ng’abalamuzi ,abalina okulinyisibwa amaddaala, okulondoola eneeyisa n’enkola y’emirimu egyessiga eddamuzi.
Akakiiko era kekawandiisa abakozi b’essiga eddamuzi n’okuvunanyizibwa ku ntambuza y’emirimu mu ssiga eddamuzi.
Kekakwasisa n’empisa mu ssiga eddamuzi.
Dr.Dagalous Karekona Singiza asunsuddwa wamu ne Rosette Comfort Kania eyalondebwa ku kifo ky’omumyuuka wa ssentebe w’akakiiko kano, saako Frank Musingwiire nga memba ku kakiik.
Ebivudde mu nsisiinkano yakakiiiko ka parliament ekubiriziddwa sipiika wa parliament Anita Among, bigenda kusindiikibwa eri omukululembeze weggwanga asalewo ekiddako
Dr.Dagalous Karekona Singiza agenda ku kudda ku bigere byomulamuzi Benjamin Kabiito eyamalirizza ebisanja bye ebibiri ku nkomerero yomwezi ogwa January 2025.
Egimu ku mirimu eminene Dr. Dagalous Singiza gyayolekedde mu Kisanja kye kino ,kwekunoonya Ssaabalamuzi w’eggwanga omuggya anadda mu bigere bya Ssabalamuzi Alphonse Owinyi Ddolo anatera okuweza emyaka egiwumulirwako.#