Okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North kutandise kikeerezi mu bitundu ebimu, olw’obuuma obukozesebwa mu kulonda okutuuka ekikeerezi okuva mu kakiiko k’ebyookulonda.
Wabula Commissioner wa Electoral Commission of Uganda Ssalie Simba agambye nti wadde gubadde bwegutyo bagenda kufuba okulaba ng’abalonzi balonda awatali kutaataaganyizibwa.

Abalonzi mu kitundu kya Kawempe Mbogo mu bifo ebirondebwamu ekyokumuzikiti gwe Mbogo ekimu ku bifo ebisingamu abalonzi abangi,bakedde kutabuka era nebagoba emmotoka zonna eziriko nnamba emyufu ebibadde mu kifo webalondera nga bazekengera okubaamu obululu.

Ate mu bifo bisatu mu muluka gwe Komamboga ate yo ekikeereseza okulonda, be bantu 10 abessalira abalina okubeera ku polling station, babadse tebanawera.

Ate mu bitundu okulonda gyekutandise mu budde, kubadde kwamirembe.
Okulonda kuli mu miruka 9, ebyalo 47, n’ebifo ebirondebwamu 197.
Abantu 10 bebesimbyeewo, okuli Erias Luyimbazi Nalukoola owa NUP, Hajjat Farida Nambi Kigongo Owa NRM, Mukiibi Sadat Owa FDC, Kasaca Henry Mubiru Owa DP, Luwemba Luswa Muhammad Independent, Mugerwa Hanifah Karadi independent, Musitwa Ismail independent, Nsereko Moses Independent, Mutazindwa Muhamood Independent wamu ne Edward Stanley Owa Independent.
Abalonzi abali ku nkalala bali 199,341, bwogerageranya naabo 164,052 abaalonda mu kalulu akaaliwo mu 2021.
Eyali omubaka wa Kawempe North Muhammad Sseggiriinya yafa mu January 2025.#