Obululu bw’empaka za Stanbic Uganda Cup obw’omutendera gwa ttiimu 16 bukwatiddwa leero nga 11 March,2025, nga bannantamegwa b’empaka ezaasembayo 2023/2024 aba Kitara akalulu kabasudde ku club ya Gaddafi.
Obululu buno bukwatiddwa ku kitebe kya FUFA e Mengo mu Kampala.
Eyaliko omukwasi wa goolo ya Uganda Cranes Ibrahim Mugisha yakulembeddemu omukolo gw’okukwata obululu buno.
KCCA egenda kuzannya ne club ya Rwenzori Lions, Lugazi egenda kuttunka ne Villa Jogo Ssalongo, Kaaro Kalungi egenda kuzannya ne UPDF ate URA ettunke ne Kataka FC.
Vipers egenda kuzannya ne Blacks Power, Maroons egenda kuzannya ne Police ate nga BUL egenda kwambalagana ne Total FC.
Emipiira gino gigenda kuzannyibwa wakati wa nga 17 okutuuka nga 21 march,2025.
Omuwanguzi w’empaka zino y’akiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Confederations Cup.
KCCA ne Express be bakyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi 10 buli emu, ate nga Villa Jogo Ssalongo erina ebikopo 9.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe