Ng’obuganda bwetegekera okujaguza emyaka 70 egya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwaleero tukuleetedde Omumbejja w’e Nkole Nyakairu Rhona, eyakula n’Omulangira Ronald Muwenda Mutebi, kaakano Kabaka wa Buganda.
Omumbejja Nyakairu Rhona akinogaanyizza nti Omulangira Mutebi yava buto nga wa kisa, wa buvunanyizibwa, nga afaayo era ng’ayagala bato banne.
Omugabe wa Ankole Kahaya baali ba mukago ne Ssekabaka Sir Edward Muteesa II, era lwakya lumu Omugabe n’akwata muwalawe ono n’amuleeta mu Lubiri e Mengo, olwo n’amukwasa Ssekabaka Muteesa n’amusaba omwana oyo amukuze.
Ekyaddirira kwe kumukwasa Namasole Sarah Kisosonkole, n’ababakuliza wamu ne n’omulangira Ronald Mutebi.
Omumbejja Nyakairu yeenyumirizza nnyo mu ky’okukulira mu Lubiri lwa Kabaka, nti baamukuza ng’omukyala Omuganda ne bamuyigiriza empisa n’okukola emirimu, nti era obuwanguzi bwonna bwatuuseeko mu bulamu omusingi gwava ku Ssekabaka Muteesa ne maama Namasole Sarah Kisosnkole.
Omumbejja yeenyumirizza nnyo mu mulangira Mutebi nti mu butoobwe baamukuza ng’omwana omulala, teyeegulumizanga yadde okukola ekitigi, kyokka ng’afaayo ku banne.
Ayozaayozezza Maasomoogi okutuuka ku kkula ery’emyaka 70, n’asaba Omutonzi amuwangaaze.
Omumbejja Nyakairu ayogedde ku kusomoozebwa kwe baayitamu ng’Olubiri luwambiddwa, neyeebaza nnyo Katonda ayambye Magulunnyondo n’amuwanguza entalo era n’awugula ebizibu akafukunya ebimujjira.
Obuganda buli mu keeterekerero ak’okujaguza emyaka 70 egya Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Mu bikujjuko eby’omwaka guno waliwo emirimu egiwerako egigenda okukulembera entikko y’amazaalibwa nga 13 Apuli, omuli okutongoza ekizimbe ekyabbulwamu Kabaka ku ssomero lya St Peters SS Bbombo Kalule.
Mulimu okugabira abaami b’amasaza Tractor mu kaweefube ow’okusitula eby’obulimi, okwo saako ebyoto ebigenda okukumibwa ku mbuga z’amasaza n’amagombolola, kwe banaasomeseza abavubuka n’okubalambika ku nsonga ez’enjawulo.
Ebikujjuko era byakukulemberwa emisinde mubunabyalo egigenda okuddukibwa nga 6 April,2025 mu Lubiri e Mengo.
Ensimbi ezinaava mu misinde zaakweyambisibwa mu lutalo olw’okulwanyisa nnawookeera wa Mukenenya, era emijoozi egy’okuddukiramu gitundibwa shilling emitwalo 20,000/=.
Bisakiddwa: Nakato Janefer