Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde gukutte ekisulo ky’essomero lya Vic View primary school e Bugembe mu Jinja, ebintu by’abayizi biweddewo.
Abaddukirize abogeddeko nomusasi waffe e Busoga Kirabira Fred, bagambye nti omuliro gutandise ku saawa kkumi n’ekitundu eze ggulo lya leero nga 12 March,2025 , negusanyaawo ebyabayizi omuli ebitabo, engoye, emifaliso, amabbaafu, nekalonda omulala abeera mu bisulo byabayizi.
Bisakiddwa: Kirabira Fred