Abasirikale okuva mu bitongole by’ebyokwerinda ebyenjawulo abali mu byambalo n’engoye ezaabulijjo bayiiriddwa okwetoloola Kawempe North.
Emmotoka z’amagye.n’abasirikale abambadde obukookolo bebalawuna ebifo byonna.
Waliwo bannamawulire abakubiddwa ab’ebyokwerinda, era nga batwaliddwa mu bifo ebitanategeerekeka.
Bannamawulire abakubiddwa babadde bakwata mawulire g’ababaka ba parliament Hillary Kiyaga owa Mawokota North ne Kayemba Solo owa Bukomansimbi ababadde bakwatibwa ab’ebyokwerinda nga kigambibwa nti babadde bataataganya okulonda mu Kazo Angola.
Mu banna mawulire abakwatiddwa mwemuli Junju Moses owa BBS, Raymod Tamale,Deniss Kabugo aba NTV ne Abubaker Lubowa owa Daily Monitor n’abalala nebatekebwa mu mmotoka za Drone nebatwalibwa mu bifo ebitanamanyibwa ,songa banna mawulire abalala basobodde okwemulula nebadduka.
Munnamawulire wa Spark TV Hasifah Nanvuma naye akubiddwa ne camera ye neyonoonebwa.
Mu kitundu kya Kazo Angola abebyokwerinda tebakyakkiriza bantu kukwata bifaananyi wadde abakozesa essimu zabwe okukwata ebigenda mu maaso era abantu abamala okulonda balagiddwa okudda ewaka.
Mu bitundu ebirala ebya Kawempe ebironderwamu embeera ekyali nzikakkamu, era ng’abalonzi abamala okukuba akalulu tebadde waka basigala mu 100 metre ezalagiddwa nga bwebagoberera ebigenda mu maaso, n’okulinda ekiseera ky’okubala akalulu kituuke.#