Ekitongole ekivunanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya NEMa kizeemu okukola ekikwekweto ky’okumenya amayumba g’abantu abeesenza mu lutobazi .
Ekikwekweto kino kitandikidde mu Kibiri mu gombolola ye Masajja.
Amayumba g’abantu agawerako gamenyeddwanegasuulibwa ku ttaka.
Abantu abawerako wakati mu bulumi bategezezza nti NEMA teyabawa budde kweteegeka era ebintu byabwe byonna byonoonese.

Wabula omwogezi w’ekitongole kya NEMA William Lubuulwa agambye nti baabalabula dda era webatuukidde okubamenya nga buli ekigenda mu maaso bakimanyi.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ng’asinziira ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyala egyabadde e Bukwiri mu district ye Kyankwanzi, yategeezezza nti gwe mulundi ogwasembyeyo okulabula abantu abesenza mu ntobazi okuzaamuka mu bwangu.