Abasimbyewo, abakulira ebyokwerinda ,n’abalondoola eby’okulonda mu Kawempe North, basisinkanye abatwala eby’okulonda, okutema empenda ku ngeri y’okubeera n’akalulu ak’emirembe.
Mu ngeri yeemu bannakyewa basabye akakiiko kaseewo embeera ennungamu okusobozesa abalonzi mu Kawempe North okuddamu okulonda omubaka wabwe olunaku olw’enkya nga 13 March,2025 mu mirembe.
Mu nsisinkano eno Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama alagidde ab’ebyokwerinda okukwata emmotoka zonna ezinaasangibwa nga tezirina number plate mu Kawempe North olunaku lw’enkya okwewala okutabangula emirembe.
Bino webijidde nga waliwo ebigambibwa nti waliwo emmotoka ezirabiddwako mu Kawempe North nga tezirina number plate, nga ziteeberezebwa nti zibadde zibbirwamu obululu mu bitundu bye Nammere mu Kawempe.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi awonedde watono okugajambulwa abantu abasaangiddwa mu kifo ekimu ewagambibwa nti waliwo ababadde bagololerayo obululu.

Eno bannamawulire bakubiddwa ensambaggere n’amayinja, era nga waliwo akoseddwa nebatwalibwa mu ddwaliro.

Wabula ssentebe w’akakiiko k’okulonda eby’okubba obululu ng’olunaku lw’okulonda terunatuuka abisambazze.
Tusiime Gerald omumyuka w’omuduumizi wa police etwala Kampala metropolitan agambye bbo ng`ebitongole by’ebyokwerinda tebalina wadde kyebamanyi ku mmotoka ezitalina number plate, era nagamba nti emmotoka ezo webanaazirabirako bagenda kuzikwata.
