Government ya Uganda ng`eyitira mu office Ssaabaminisita ewereza emigogo gy’amabaati 11,168 eri abantu be Karamoja, bageyambise okuzimba ennyumba ezamabaati bave mu z’essubi.
Gano gegabadde gakyasigaddeyo okuweza omugatte gwa minwe gy’amabaati 108,720, egiweereddwa abawejjere e Kalamoja, naabakwata mmundu abaaziwaayo mu mirembe.
Amabaati gano gawerezeddwa mu district 9 ezikola ekitundu kye Karamoja, okuli Amudat, Kotido, Napak, Nabilatuk, Abim, Kabongo, nendala, era buli maka gagenda kuweebwa emigogo gy’amabaati 26.
Okusinziira ku wofiisi ya Ssaabaminister, abakwata mmundu naddala Abakaracuna abaakkiriza okuwaayo emmundu mu mirembe, president Museveni naabasuubiza okubawa amabaati bakyuse obulamu, bebamu ku basiinze okussibwako essira.
Dr Peter Lokeris Minister avunanyizibwa Kunsonga ze Karamoja, bwabadde asiimbula emmotoka z’amabaati gano Ku office za Prime minister e Namanve, agambye nti amabaati gano agasoba mu mitwalo kumi kegaweddeyo, bagenda kuddamu okunoonya amabaati amalala okugawa abawejjere abakyafikidde naabo abakyawayo emmundu.
Minister omubeezi avunaaanyizibwa ku nsonga z’e Kalamoja Wamala Namboozo Florence agambye nti bagenda kufuba okukakasa nti amabaati gano gatuuka butereevu eri aba Karamoja abateekeddwa okugafuna.
Okuva mu mwaka gwa 2020 ensonga y’amabaati ge Kalamoja etuuza abakulu mu government obufoofo, oluvannyuma lw’amabaati agaasooka agaalina okugenda e Kalamoja gagabibwe eri abantu abawejjere, ate okuba nga waliwo abakulu abaagegabanya, era nga gaaletera ne ba minister 3 okusibwa mu kkomera, eranga bakyawerennemba n’emisango mu kooti.#