Ssentendekero w’Obwakabaka owa Muteesa The First Royal University, akalulu kagisudde ku Bugema University mu mpaka z’omupiira ogw’ebigere eza matendekero agawaggulu eza Pepsi University Football League omutendera gwa quarterfinal.
Obululu bwa quarterfinal bukwatiddwa olwaleero nga 13 March,2025 ku Kati Kati Restaurant e Lugogo mu Kampala.
Emipiira egy’oluzannya olusooka gyakubeerawo okuva nga 18 okutuuka nga 22 March, ate okuddingana kubeerewo nga 24 okutuuka nga 28 March,2025.
Muteesa I yaagenda okusooka okukyaza Bugema University ku ttabi lya Muteesa I University e Kirumba Masaka.
Muteesa I Royal University okutuuka ku quaterfinal yayiseewo nga ekulembedde ekibinja F n’obubonero 9, ate Bugema University yayiseewo nga ekulembedde ekibinja D n’obubonero 13.
Muteesa The First Royal University yavuganyizza mu mpaka zino omulundi gwayo ogwasookedde ddala, era mu kibinja F yabaddemu ne MUBS ne Mbarara University of Science and Technology.
Emipiira emirala egya quarterfinal Kampala University egenda kuzannya ne IUIU, wabula emipiira gigenda kukakasibwa ng’emipiira gy’ebibinja gikomekerezeddwa.
Nkumba University be bannantameggwa b’empaka ezasembayo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe