Embeera ezze mu nteeko oluvannyuma lw’essaawa eziwezeeko ng’entambula esannyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja, wakati wa Banda ne Kyambogo.
Amataba agavudde ku nkuba ekedde okufudemba gasazeeko ekitundu ekyo, era nga tewabadde kidduka kyonna kisobola kuyita.
Ekitongole kya UNRA kibadde kyawomoggola ekitundu ekyo, nga waliwo emirimu egikolebwawo okutereeza ebyentambula ku luguudo olwo.
Embeera ebaddewo ewalirizza akulira police yébidduka mu Kampala némiriraano Rogers Nsereko Kawuma, okuyimiruza abagoba b’ebidduka byonna okwesonyiwa oluguudo olwo, n’abalagira okukozesa enguudo endala okuziyiza obubenje obubadde buyinza okugwawo olw’amataba agasazeeko oluguudo.
Bisakiddwa: Kato Denis