Ssentebe wa NRM era President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa agumizza ba memba ba NRM abaawanguddwa mu kalulu k'okulonda abakiise b'olukiiko olw'okuntikko olukulira ekibiina, okubeera abakkakkamu n'abasuubiza nti ewabadde...
Ssaabawandiisi wa Sacco y'abasomesa eya Uganda Liberal Teachers’ Union Members SACCO, Twinomujuni Nathan Kakson asiimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kooti ya Buganda Road, agguddwako emisango gy'okwefuula kyatali n'okwekobaana okubulankanya sente...
Abatuuze mu kabuga ake Kanoni mu district ye Gomba bali mukutya olwababbi abeeyongedde obungi mu kitundu ekyo, nga nabakasembayo balumbye Omukozi wa mobile money ne Agent Banking nebamutemaatema. Omusuubuzi gwebalumbye...
Omwami n'omukyala bakubiddwa amasannyalaze negabattirawo e Kibuye mu Nkere zone mu Makindye Municipality mu Kampala. Omukyala abadde ayoza ngoye ng'enkuba etonnya, bwagenze okuzaanika ku waya amasannyalaze negamukuba, omwami bwadduse okutaasa...
Abatuuze ku byalo ebiwerako mu gombolola ye Nalutuntu mu district ye Kassanda bakeeredde mu kiyongobero, oluvannyuma lw’Ebisolo byaabwe okutemwa abantu abatannamanyika nebabitta. Obutemu buno bubadde ku byalo Kyakatebe B...
Obwakabaka bwa Buganda bufunye computer ekika kya Tablet eziwera 1000 okuva mu kitongole kya government ekivunaanyizibwa ku kubala abantu ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS), okuyambako ekitongole okunoonyereza ku bibalo...
Kampuni ya Turkey eri ku mulimu gw’okuzimba ekisaawe kye Hoima, eya SUMMA, ekinoganyiza nti omwezi ogujja ogwa Julyomulimu gw’okuzimba ekisaawe kino gugenda kuba gunyinyintidde, era gujja kuba ku bitundu...