Government ng’eri wamu ne Kitongole kyayo ekivunanyizibwa kugamba internet ki National Information Technology Authority NITA-U batongozza enkola y’emitimbagano egigendereddemu okuyamba ministry y’ebyejigiriza n’ekitongole ky’e ddembe lyobuntu ki Uganda Human Rights Commission, okutuusa obuwereza ku bantu mu bwangu ate mu bwenkanya.
Eno yeemu ku nteekateeka Nnamutayiika government zerina ng’eyita mu ntegeka eya National Development Plan III ey’okufula obuwereza bwa government nga butambulira ku mitimbagano oba digital.
Omutimbagano gw’ebyejigiriza gutuumiddwa U-learn Platform ate ogwa Uganda Human Rights Commission guyitibwa Case Management System, nga gugenda kukozesebwa abantu okussaayo okwemulugunya kwabwe, kwekenenyezebwe mu bwangu, era emisango gisalibwe n’obwenkanya.
Abakulu bwebabadde batongoza enkola eno nga bakulembeddwamu minister omubeezi owa technologiya n’okuluηanya eggwanga, Owek.Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo, senkulu wa NITA-U Dr. Hatwib Mugasa bagambye nti bagala okuggyawo enkola y’okujjuza empapula ebaddewo.
Minister Owek. Joyce Juliet Nabosa Ssebugwawo asinzidde ku Media Centre mu Kampala nategezeza btu waliwo n’enkola za Technology endala nnyingi ezikyabagibwa okukyusa enkola y’emirimu.
Akulira ekitongole kya Uganda Human Rights Commission Hajjat Fauzati Mariam Wangadya asinzidde wano ne yebazza government olw’okuleeta technology agenda okwanguya emirimu mu bitongole byabwe.
Dr. Hatwib Mugasa, senkulu wa NITA-U, agambye nti emikutu gino gyombi ntandikwa mu kubunyisa technology eri ebitongole bya government byonna okuyamba bannansi.
Dr. Annet Mugisha Kajura, Commissioner mu Kitongole ekibangula abasomesa ki Teacher Education Training and Development mu ministry ye byejigiriza agambye nti bagenda kwanguyibwa okuwereza abasomesa abali mu byalo emisomo ne nteekateeka za ministry nga bwezitambula.
XxxMuda






