Munnamateeka Derick Fredrick Namakajjo nate azeemu okuwandiikira sipiika wa parliament Jacob Oboth Oboth ng’ayagala parliament erangirire mu lwatu nti ba minister ababiri okuli ow’ensonga z’amawanga amalala Ambassador Adoniya Ayebare ne minister omubeezi ow’ebyensimbi avunaanyizibwa ku micro Finance Shartis Kuteesa Musherure abalayiziddwa, nti baasoose kusazaamu obutuuze bw’amawanga amalala bwebabadde nabwo.
Munnamateeka Derick Fredrick Namakajjo ng’akiikiriddwa kampuni ya bannamateeka eya Bristow Advocates ,ayagala parliament eteeke mu lwatu ebiwandiiko ebikakasa nti ba minister abo obutuuze bw’amawanga amalala obwali bwasooka okubalemesa okulayira nti bwasaziddwamu.
Ba minister Adonia Ayebare ne Shartis Kuteesa saako amyuuka Ssenkulu wa Victoria University, bwebaalondebwa nga ba minister ,akakiiko ka parliament akekeneenya abantu omukulembeze w’eggwanga babeera alonze kagaana okubayisa okwokubeera n’obutuuze bwa mirundi ebiri obw’amawanga amalala n’obwa Uganda.
Wabula oluvannyuma lw’akaseera Ambassador Adoniya Ayebare ne Shartis Musherure Kuteesa balayiziddwa ku bifo byobwa minister
Munnamateeka Namakajjo kwasinzidde okusaba parliament enyonyole eggwanga n’okulaga obujjulizi engeri abantu beyaali egaanyi okuyisa ate gyebafuuse ba minister era nebalayizibwa, nga tewali kyebategeezezza ggwanga ku ky’okusazaamu obutuuze bw’amawanga amalala.
Munnamateeka Namakajjo agamba nti nga bweyawandiikira parliament mu kusooka nga agirabula ku nsonga zabaali bawereddwa obwa minister nti nga balina obutuuze bwa mirundi ebiri, era nawulirizibwa nebayimirizibwa, n’omulundi guno ayagala obujjulizi bulagibwe nti eby’okubakakasa kubwa minister tekwabadde kuweta mateeka, obukakafu buteekebwe mu lwaatu
Offiisi ya sipiika wamu ne parliament ya Uganda tenayanukula ku nsonga eno.
Sipiika Jacob Oboth Oboth eyawandiikiddwa ebbaluwa eno ali bweeru wa ggwanga, songa ba minister aboogerwako Adoniya Ayebare ne Shartis Musherure Kuteesa baatandise okukakalanya emirimu gyaabwe nga ba minister.#










