Kyaddaaki police y’ebidduka ekutte omugoba wa mmotoka agambibwa okuvaako akabenje e Namulanda ku luguddo lw’e Entebbe, omwafiira bannamawulire 2 abomukutu gwa Next Media, ate omulala yasittuka n’ebiwundu eby’amaanyi.
Abagenzi kuliko Badra Kasirye ne Isaac Ndamagye, sso nga Brain Ssemanda Makoona emagombe yasimbayo kitooke.
Akwatiddwa ye Kigozi John Baptist kitegerekese nti yeyali avuga emmotoka ekika kya Double Carbin No. UAS 976W egambibwa okuvaako akabenje, olw’okuva mu ludda lwe naalumba abakozi ba next media gyebaali bavugira, natomera motoka yabwe kika kya Toyota Alex namba UA 779DE.
Police emaze ennaku 5 ng’eyigga ddereeva eyavaako akabenje, okutuusa lwebamuzudde.
Omwogezi wa police y’rbidduka mu ggwanga Micheal Kananura ategezezza nti omukwate ye Kigozi John Baptist era agenda kutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe emisango egiwerako.#










