Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasolooza ensimbi okuva ku balwadde abetaaga obuweereza bw’obujanjabi obw’ebyuuma eby’ekikugu.
Ministry yebyobulamu agambye nti ensimbi eziweebwa ministry Eno okulabirira ebyuma ebyo tezimala, amalwaliro kwekusalawo okunoonya ensimbi ez’okubibezaawo n’okubiddaabiriza nga bifudde.
Abakulu mu ministry yebyobulamu abakulembeddwamu minister w’ebyobulamu Dr.Chris Baryomunsi wamu n’omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulamu Dr Diana Atwiine basinzidde mu nsisinkano n’akakiiko ka parliament akalondoola ebyobulam.
Akakiiko kakubirizibwa omubaka wa Bukonzo East Dr Monday Julius Rude n’omubaka omukyala owa district ye Mubende Hope Grania Nakazibwe.
Mu nsisinkano eno, ababaka bemulugunyiza ku ky’amalwaliro okusaba abalwadde ensimbi okubatuusaako obuweereza bw’ebyuuma ebyekikugu mu malwaliro,okuli CT scan, MRI nebirala
Dr Diana Atwiine omuteesiteesi omukulu mu ministry yebyobulamu agambye nti ensimbi ezisoloozebwa ku balwadde abeteega obuweereza bw’ebyuuma ebyo, zezikozesebwa okuddaabiriza ebyuuma ebyo singa bibeera bifudde, kubanga ensimbi government zeewa ministry yebyobulamu okubiddaabiriza tezimala olw’obutamanya muwendo mutuufu ogw’abanaalwala.
Dr Atwine agambye nti mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka guno 2026/2027, ministry rno yaweebwa obuwumbi 2 nobukadde 800 okulabirira n’okuddabiriza ebyuuma ebyekikugu byonna mu malwaliro zagambye nti tezimala yadde nakatono.
Dr.Diana Atwiine agambye nti namasanyalaze gennyini agaddukanya ebyuuma bino mayitirivu, nga government ensimbi zeewa ministry Eno ntono nnyo, ministry yebyobulamu kwekusalawo esoloozeeyo ensimbi ensaamusaamu okuva ku balwadde abetaaga obuweereza bw’ebyuuma ebyo okuziba eddibu.
Minister w’ebyobulamu Dr.Chris Baryomunsi asinzidde mu nsisiinkano Eno, naagamba nti yalagidde ttiimu ye mu ministry yebyobulamu emukolere okunoonyereza emuwe alipoota ku biviirako bannansi okuddukira ebweeru w’eggwanga okufuna obujanjabi mu mawanga gabazungu n’amalala.
Dr Baryomunsi agambye nti yetaaga okumanya ekitaliiwo wano mu Uganda, ekiviirako bannayuganda okuddukira ebweru wamu neebyo ebiremesa abantu mu mawanga amalala okuggya wano mu uganda okufuna obujanjabi mu malwaliro gaffe agawano.#







