Police ekakasizza nti abantu 4 bebakafa k ubigambibwa nti baalya ennyama y’ente ku mukolo gw’olumbe , mu bitundu bye Rakai.
Omuntu asooka naafuna ebitulututtu naazimba ekifuba naafa.
Police egamba nti abantu abatanamanyibwa muwendo kigambibwa nti bali mu mbeera mbi naye nga 4 bbo bakakasiddwa nti bafudde
Omwogezi wa Police mu bendobendo lye Masaka Twaha Kasirye agambye nti ministry y’ebyenjigiriza eweerezza abakugu abagenda okwekenneenya embeera, bazuule ekyaviiriddeko abantu okua.
Agambye nti abafude kuliko Bangirana Charles,Ntegyelize Jannifer ne Byakanira Christmas, ate ow’okuna talina bimukwatako era yagyiddwawo sampo zitwalibwe e Kampala bazuule ekyavuddeko obuzibu.






