Abantu abatanamanyika balumbye ekkomera lya government mu district ye Kyegegwa, bakuliise n’emmundu 2 saako okulumya abasirikale ababadde bakuuma ekkomera.
Emuddu zino zinyagiddwa ku saawa nga musanvu ez’ekiro ekikeesezza leero nga 14 August,2026, era kigambibwa nti okulwanagana kubadde kw’amaanyi wakati w’abasirikale abakuuma ekomera lino n’abalumbaganyi.
Okusinzira ku kitongole ky’amakomera, emuddu ezibbiddwa kuliko No. UG PRI 563615124 ne No. UG Pol. 565828358 nga zonna zibaddemu amasasi 30.
Mu bulumbaganyi buno era abasirikale bamakomera okubadde Sergeant Warder Kalisa Titus No.6972 ne Sergeant Wardress Nakuya Susan Margret No. 11423 saako warder Odongo Joshua No.12980 bafunye ebisago era batwaliddwa mu ddwaliro lya Kyegegwa General hospital okufuna obujjanjabi.
Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Baine Mayanja ategezezza CBS nti mu bulumbaganyi buno tewali musibe atolose era nga bakolera wamu n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala bakola ekisoboka okuzuula emmundu ezibbiddwa.
Baine agambye nti bataddewo ne namba y’essimu ey’obwereere eri abalina amawulire gonna agakwata ku balumbaganyi bano eri 0800144144.#










