Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'entambula ekya Uganda National Roads Authority, (UNRA), kiyimirizza entambula y'ekidyeeri ekisaabaza abantu okuva ku mwalo gwe Masindi okugenda mu district ye Kiryandongo ne Apac. Abakugu b'ekitongole kya...
Government ya Uganda etandise okubaga enteekateeka y'okusengula abantu abaliraanye ekifo ewayiibwa kasasiro e Kiteezi kigaziyizibwe, era asigale ng'ayiibwa eyo abasenguddwa ebatwaaale mu kifo ekirala. Ssabaminister Robinah Nabbanja ategeezezza parliament nti...
Entuumu ya kasasiro ayiibwa e Kiteetikka Kiteezi ebuumbulukuse n'agwiira amayumba agaliranyeewo, kigambibwa nti waliwo abantu abateeberezebwa okuba nga bafiiriddemu. Ekifo kino kyassibwawo ekitongole kya Kampala Capital Authority, nga wewayiibwa kasasiro...
Akakiiko k'eggwanga akalwanyisa okusaasaana kw'akawuka ka mukenenya mu ggwanga ka Uganda Aids Commisson kategeezezza nti omwezi gwa Feruary 2025, bannauganda abalina akawuka ka mukennenya bakutandika okuweebwa obujanjabi bw'eddagala erikubibwa mu...
Omulabirizi we Namirembe kitaffe mu Katonda Moses Bbanja yakulembeddemu okubuulira, mu kusabira Ssaabasajja Kabaka ku matikkira ge ag'omulundi ogwa 31 mu lutikko e Namirembe, nalabula bonna abatyoboola ekitiibwa Kya Nnamulondo...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ayanukudde bannauganda abamu abagala omuwendo gwa parliament okukeendezebwa, agambye nti tekikyasoboka kubanga constituency zitondebwawo lwa nsonga. Parliament ya Uganda mu kiseera kino erimu ababaka...
Abalimi n'abalunzi abatereka mu bank y'abegassi ya Bukooba MG sacco bali mu maziga abazigu abatannategerekeka balumbye banka yabwe, bakuliise n'ensimbi ezitannategerekeka muwendo, wamu ne computer. Obunyazi buno bubadde ku banka...