Obwakabaka buwabudde abaweereza b’Obwakabaka ku mitendera gyonna, okwettanira enkola za Tekinologiya ow’omulembe nga bakola emirimu kibayembe okutuukiriza obulungi obuvunanyizibwa obubakwasibwa.
Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategezezza nti ensi yonna kakano yafuka ya mitimbagano, ng’ekiseera kituuse byonna ebikolebwa mu Bwakabaka okutambulirizibwa ku nkola ey’Omulembe.
Owek Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde mu Bulange mu kukwasa Abaami be Ggombolola, ebyuma bi kalimagezi ebya Tabuleeti , nagamba ebyuma bino byakuyambako Abaami okukuηaanya ebibalo ku byonna ebikolebwa , naakuutira abaweereza okuzikozesa obulungi.
Mungeri ey’enjawulo Owek Waggwa asabye Abaami okukunga abantu ba Kabaka okwenyigira mu bikujjuko by’okujjukira emyaka 33 nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alamula Obuganda
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Oweek Joseph Kawuki asabye abaami okufaayo okuyiga enkola eza Digital era nategeeza singa ebikwata ku bantu ba Kabaka bimanyibwa kyakuyambako okubateketekera obulungi.
Abaami abakwasiddwa tabuleeti zino beyanzizza Nnyinimu olwokubasosowaza nebeyama okuzikozesa obulungi nga bakola emirimu.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius













