Ebya Club ya Express FC mukwano gw’abangi okuvuganya mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season ejja eya 2026/27, bizzeemu kigoye weziinge oluvanyuma lw’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA obutagiwa license ey’okuvuganya mu season eno.
Express mukwano gw’abangi eri wamu ne ttiimu endala okuli Lugazi ne UPDF ewamu ne club 2 okuli Kataka ne Blacks Power ezakasuumusibwa okuzannya mu liigi eno.
Mu kiwandiko ekifulumiziddwa FUFA, kiraze nti club zino 5 zikyalemereddwa okuwaayo byonna ebyazisabwa okuvuganya mu liigi eno.
Express mukwano gwabangi evunaanibwa obutaba na ttiimu y’abakazi, obutaba na biwandiiko ebitongole ebiraga ensasula y’emisaala egy’abazannyi n’abatendesi, obutaba n akisaawe ekitendekerwamu ttiimu eno n’ebirala.
FUFA ekakasiza club endala 8 okuli KCCA, Vipers, NEC, Villa Jogo Ssalongo, URA, Police, Kigezi Homeboys ne Ntungasaazi nti zino zezisobodde okutuukiriza ebisaanyizo byonna 100%.
FUFA era akakasizza nti club endala 5 okuli Kitara, Entebbe UPPC, Maroons, BUL ne Mbarara City, zino zifunye license ya kiseera, era ziweereddwa nsalessale wa nga 15 August,2026 okutuukiriza ebikyasigaddeyo.
Uganda Premier League season eno 2026/27 egenda kutandika nga 28 August,2026, era nga Vipers be bannantameggwa ba season ewedde.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













