Omulamuzi Collins Acellam lagidde omuduumizi w’amagye, ssabaduumizi wa police, ne Ssaabawolereza government okwanjulira kooti byebanaaba bazudde kukubuzibwawo kwa Kivumbi.
Kooti yakuddamu okutuula nga 29 July,2026 okuwulira okusaba kwa bannamateeka ba Muwanga Kivumbi nga bagala kooti eragire aleteebwe nga mulamu oba nga mufu.
Kigambibwa nti Kivumbi yabuzibwawo abasajja abaali bambaludde emigemera wala nga baali batambulira mu mmotoka ekika kya Drone nga 10 July, 2026 mu bitundu bye Mpigi era nga bino byonna byali bigenda mu maaso ng’abasirikale ba police balaba.
Kivumbi okubuzibwawo yali yakateebwa mu nnaku bbiri ku kakalu ka kooti bukadde bwa shs 10, akaamuweebwa omulamuzi Susan Okalany.
Kivumbi avunaanibwa ne banne balala 16 ku misango gy’obutujju, nga kigambibwa nti baalumba police y’e Kibibi, wamu n’ekifo ewaali wagattibwa obululu mu district ye Butambala, mu kulonda okwaliwo nga 15 January,2026.
Kivumbi yali yakamala ku alimanda emyezi 6.
WAbula police yegaanye nti terina kyemanyi ku kukwatibwa kwa Kivumbi, era Commissioner wa Police Godwin Tumugumye agambye nti tewali kadduukulu ka police naakamu kalimu Muwanga Kivumbi.
Bisakiddwa: Betty Zziwa











