Omulangira we Eklezia omutiibwa Emmanuel Cardinal Wamala yebazizza Katonda olw’emyaka 33, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll gyawezezza ku Namulondo nga alamula Obuganda.
Omutiibwa abadde Nsambya mu Makage, bwabadde asisinkanye abakulira ekitongole ky’Abakadde mu Buganda nga bakulembeddwa mu Minister wo Butondebwensi Obulunginwensi ,Amazzi n’ekikula ky’abantu Owek Hajat Mariam Mayanja Nkalubo.
Kalidinaali Wamala atenderezza Ssabasajja Kabaka Ronald Muwendo Mutebi II olw’okubeera omusaale mukutumbula embeera z’abantu ,ebyobulamu,ebyenjigiriza nebirala mu myaka gino 33 gye yakamala ng’alambula Obuganda.
Mungeri yemu Omutibwa Cardinal Wamala yeyanziza nnyo Ssabasajja Kabaka okusiima nateekawo ekitongole ky’bakadde mu gavumenti ye kyagambye nti kirungi nnyo.
Minister we Bulungibwansi Obutondebwensi,Amazzi ne Kikula Kya Bantu Oweek Hajat Mariam Mayanja Nkalubo abuulidde Omutiibwa Cardinal Wamala enteekateeka ezenjawulo omuli okubangula abakadde ebyemikono basobole okukola emirimu egyenjawulo wamu n’okusomesa abantu ababalabirira .
Ssentebe we Kitongole ky’Abakadde mu Bwakabaka Mayanja Peter ategezezza nti okukyalirako ku bakadde kikulu nnyo era kibazzaamu essuubi.
Bidakiddwa: Nakato Jeniffer Lwantale











