Government ya Uganda etandise okubaga enteekateeka y’okusengula abantu abaliraanye ekifo ewayiibwa kasasiro e Kiteezi kigaziyizibwe, era asigale ng’ayiibwa eyo abasenguddwa ebatwaaale mu kifo ekirala.
Ssabaminister Robinah Nabbanja ategeezezza parliament nti government eri mu nteeseganya okweddiza ettaka okutudde abantu e Kiteezi ,egaziye ekifo kya kasasiro abantu abaliyo bebaba batwalibwa e Ddundu.
Ssabaminister Nabbanja yekubye ku bannabyabufuzi baggye eby’obufuzi mu nsonga eno, nti kubanga yafuuse kizibu kya ggwanga lyonna.
Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa asabye Ssaabaminister atunule mu kuwabula okuzze kukolebwa kasasiro oyo aweebwe bamusigansimbi bamukolemu ebintu ebyomugaso ng’amasannyalaze n’ebirala.
Okuva ku Saturday nga 10 August, 2024 kasasiro bweyabumbulukuka natta abantu abasoba mu 35, ekitundu okuli Nansana, Entebbe ne Kira municipalities ne Mukono, byalanudde KCCA obutabitwalira kasasiro.#