Government ya Uganda ewanze eddusu ku munnaUPC Ambassador Olara Otunu okuvuganya ku kifo kya Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations.
Ssaabawandiisi aliko munnansi wa Portugal Antonio Gutierrez, agenda okunyuka emirimu gye ku nkomerero y’omwaka guno 2026 nga 31 december, ekisanja kye lwekigwako.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ensonga zamawanga amalala Vincent Bagiire mu kiwandiiko ekitangaaza ku nsonga ya Uganda okusimbawo ambassador Otunu kyafulumizza, kulwa government ,agambye nti obumanyirivu bwalina bumusobozesa okukulembera ekibiina ky’amawanga amagatte.
Ministry yensonga z’amawanga amalala egamba nti Ambassador Otunu yaliko okukiise mu kibiina ky’amawanga amagatte, nga yali avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’obutabanguko obuva ku ntalo.
Ekifo kino yakirimu wakati w’omwaka 1998 ne 2005.
Yaliko omubaka wa Uganda owenkalakalira (Permanent representative) mu kibiina ky’amawanga amagatte wakati womwaka 1980 ne 1985
Ambassador Olara Otunu era yaliko President w’akakiiko Kebyokwerinda ka UN Security Council mu mwaka gwa 1981, era yaliko minister w’ensonga zamawanga amalala
Yaliko President wekitongole ki International Peace Academy ekyavaamu International Peace Institute
Ministry yensonga zamawanga amalala egamba nti Ambassador Otunu emirimu gyakoledde ekibiina kyamawanga amagatte giwuwa enkizo ku bantu abalala okukulembera ekibiina kino.
Olw’emirimu Otunu gyazze akola, aze yeebazizibwa n’engule eziwerako omuli eya Sydney Peace Award 2005, The German Africa Prize 2002, the Harvard Law school Alumni Association Award 2007
Goverment ya Uganda ekkaatiriza nti Ambassador Olara Otunu musajja muyivu ddala, yalina degree sattu my by’amateeka okuli gyeyasomera ku oxford University ne Harvard law school.
Otunu era musajja ayogera ennimi okuli olungereza, Oluluo n’olufalansa.
Government ya Uganda okuyita mu ministry y’ensonga z’amawanga amalala ekoowodde ba memba b’ekibiina ky’amawanga amagatte okwesiga Ambassador Olora Otunu ,bamulonde nga Ssaabawandiisi w’ekibiina.
Olwokaano Ambassador Olora Otunu lwayingidde yegasse ku bantu abalala 6 okuva mu mawanga agenjawulo, okuvuganya ku kifo kino ekya Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte
Abavuganya kuliko Mackey Sall eyali President wa senegal, Carolyn Rodriguez Birkett munnansi wa Guyana, Rebecca Grynspan Mayufis munnansi wa Costa Rica ,Rafael Mariano Grossi munnansi wa Argentina.
Abalala abali mu lwokaano lino kuliko munnansi wa Ecuador Maria Fernanda Espinosa Garces ne Micelles Bachelet Jeria munnansi wa Chile.#













