Ssenkulu wa CBS Radio Omuk.Michael Kawooya Mwebe atenderezza abantu ba Buganda olw’okujumbira enteekateeka za Ssabasajja Kabaka naddala ez’okwekulaakulanya.
Omukungu Michael Kawooya Mwebe asinzidde mu mwoleso gwa CBS Pewosa ogugenda mu maaso e Masaka ku ssaza mu Buddu, bwabadde ayogerako ne banna bibiina bya CBS Pewosa ebikungaanidde mu mwoleso.
Omukungu Kawooya Mwebe agambye nti banna Buddu bajjumbidde nnyo enteekateeka za Ssabasajja naddala emyoleso gy’agambye nti jikyusizza obulamu bwabwe.
Mungeri yeemu awadde banna bibiina bya CBS Pewosa amagezi obutakkiriza muntu yenna kutawanya bibiina byabwe, wabula basigale ku mulamwa.
Asabye abantu abagenda mu myoleso nga gino okubaako nekyebayiga bakiteeke mu nkola.
Mu ngeri yeemu akwasizza ekibiina ky’obwegassi ekya Kyebe Pewosa group mu ssaza Buddu ekirabo kya pikipiki, olw’amaanyi gebatadde mu kwekulaakulanya.
Ebibiina ebirala bifunye ebbomba ezifuuyira mu nnimiro, enkumbi, obuwuuba (wheelbarrow) n’ebirala okubayambako okwongera amaanyi mu bulimi n’obulunzi.
Akwasizza naaba super lady black hair shampoo engule ng’abanywedde akendo mu banaabwe mu kuteekateeka omudaala gwabwe obulungi negusukkuluma ku mirala.
Omuk. Kawooya Mwebe yeebazizza banna Buddu olw’omukwano n’obuwagizi eri Radio ya Kabaka nga bettanira enteekateeka zaayo zonna .
Bisakiddwa: Lukenge Sharif