Entuumu ya kasasiro ayiibwa e Kiteetikka Kiteezi ebuumbulukuse n’agwiira amayumba agaliranyeewo, kigambibwa nti waliwo abantu abateeberezebwa okuba nga bafiiriddemu.
Ekifo kino kyassibwawo ekitongole kya Kampala Capital Authority, nga wewayiibwa kasasiro akungaanyizibwa mu kibuga Kampala.
Kasasiro ono abumbulukuse ku ssaawa nga emu n’ekitundu ezokumakya nga 10 August,2024, nga kigambibwa ntib aliko kalina gyakubye negwa, n’amayumba amalala.
Abamu ku ba kaawonawo wamu n’Abatuuze mu Kiteezi okuli Musoke Joseph Mukiibi ,Mutyaba Ssemogere nabalala ,bategeezezza nti basanze okusoomoozebwa kw’obutaba na buyambi butaasa bantu abateeberezebwa okuziikibwa Kasasiro.
Ekifo kino ekye Kiteezi, KCCA ezze ekyogera lunye nti eyagala kukisengula efune wetwala Kasasiro awalala, kuba kijjudde nga tekirina bussizo.
Bisakiddwa: Kato Denis