Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde kaweefube ow’Okubbulula Ettaka n’Okutumbula endya ennungi mu Maka, nga emu ku ntekateeka z’Okutumbula embeera z’Abantu ba Kabaka.
Kaweefube no atuumiddwa “Ente ya Kabaka” agendereddwamu okusobozesa Abalimi Okufuna Obusa bw’Ente obunayambako okuzza obugimu mu ttaka n’okugunamu n’Amata aganaayamba ku nkuza y’Abaana ennungi.
Bwabadde aggulawo Eddwaliro Muteesa ii Kalasa mu gombolola ye Makulubita mu Bulemeezi, kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka mu Buganda yonna okuteeka kaweefube ono mu nkola.
Katikkiro asabye abantu ba Beene Obutejjanjaba Ndwadde bwe baba balwadde, wabula bagende maangu mu ddwaliro,kibataase ebizibu ebiva mu kwejjanjaba okutaliiko bakugu.
Katikkiro alambudde Omulimi w’Emwaanyi Latima Mukasa Kagimu owa Kabunyata coffee growers ku kyalo Kabunyata mu gombolola ya Mutuba 9 Kamira, gyasinzidde naasaba abantu ba Kabaka Okwongera amaanyi mu kutumbula Obuyonjo mu Maka.
Minister w’Ebyobulimi Obulunzi n’Obweegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo asabye abaliko emirimu gy’ekikugu gyebakola okugattako Okulima n’Okulunda.
Minister w’Ebyobulamu Owek Chotilda Nakate Kikomeko awadde abantu ba Buganda amagezi okulwanyisa endwadde ezeewalika nga Omusujja gw’Ensiri, nga basula mu butimba.
Akulira ekitongole kya Buladde Medical research institute Prof Moses Jjoloba, agambye nti okuva mu 2024 eddwaliro lino weryatandikako okujjanjaba, abantu abakunukiriza mu 20,000 be bakajjanjabwa.Abakyala 196 be bakazaalira mu ddwaliro lye Kalasa, abalwadde 3000 bebaweereddwa ebitanda, sso nga abantu abasoba mu 1000 bafunye obujjanjabi obwenjawulo.
Omwaami wa Kabaka amukulembererako essaza Bulemeezi Kangaawo Omulangira Dr Ronald Mulondo yebazizza Obwakabaka olw’Okubangula abantu baabwo mu by’Obulimi n’Obulunzi,ebitumbudde embeera z’Abantu.
Katikkiro awerekeddwaako minister w’ensonga za cabinet n’Olukiiko Owek Noah Kiyimba, minister w’Amawulire Okukunga era omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, ssenkulu wa Bucadef Omuk Alfred Bakyuusa, nabalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis
https://cbsfm.ug/buganda-egguddewo-eddwaliro-lya-miteesa-ii-kalasa-mu-bulemeezi/











