Minister w'enguudo n'entabula mu ggwanga Gen. Edward Katumba Wamala awanjagidde abatuuze mu Kira municipality abaliraanye oluguudo olugenda okukolebwa mu nteekateeka ya Greater Kampala Metropolitan Area, okuwaayo akatundu kuttaka lyabwe omulimu...
Kooti ewozesa abalyake n'abakenuzi esindise ku alimanda ababaka ba parliament 3 okuli Igara East MP Michael Mawanda, owa Elgon County Mudimi Wamakuyu ne Busiki County Paul Akamba,bavunaanibwa kwekobaana nebekomya ensimbi...
Omubaka wa parliament akiikirira Kawempe North Muhammed Ssegirinya, asiibuddwa mu ddwaliiro lya Aga Khan e Nairobi mu Kenya gyabadde ajajambirwa okumala akaseera. Abasawo okumusibula bamaze ku mwekebegya, era nebakizuula nti...
Abatuuze be Nakibanga e Kyamuswa mu bizinga by'e Ssese bakubiddwa omuyaga ogw'amaanyi ogumanyiddwa nga Ensoke. Ennyumba ezisoba mu 50 zigwereddeku ttaka, ate endala zisuuliddwa mu nnyanja. Ennyumba z'okumyalo ezisinga zizimbibwa...
Abantu 11 bafiiriddewo mbulaga, mu kabenje akagudde ku kyalo Namiryango mu District ye Kassanda. Emmotoka No.605 eV ebadde etisse abasuubuzi ababadde bagenda mu katale k'omubuulo e Lubaali, neremerera omugoba waayo...
Omubaka omukyala owa district ye Lwengo Cissy Namujju n'owa Bunyole East Yusuf Mutembule basindikiddwa mu kooti enkulu ewozesa abalyake n'abakenuzi, bennyonyole ku misango egibavunaanibwa. Omuwaabi wa government Jonathan Muwaganya asoose...