Omubaka wa parliament akiikirira Kawempe North Muhammed Ssegirinya, asiibuddwa mu ddwaliiro lya Aga Khan e Nairobi mu Kenya gyabadde ajajambirwa okumala akaseera.
Abasawo okumusibula bamaze ku mwekebegya, era nebakizuula nti obulamu bwe buvudde mu kaseera akakatyabaga, era nti asobola okufuna obujanjabi obusigadde ng`asinziira mu maka ge.
Alex Luwemba Omuyambi w`Omubaka Muhammed Ssegirinya, agamba nti kibadde Kisa kya Katonda Omubaka okufunamu enjawulo, nti kubanga webaamutwaliira mu ddwaliiro yali mu mbeera mbi nnyo.
Annyonyodde nti abasawo bamulagidde bwatuuka mu Uganda awumulemu okumala ebanga lya myezi 3 ngatanadda mu bantu kukakaalukana na byabufuzi.
Bisakiddwa: Musisi John