Kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi esindise ku alimanda ababaka ba parliament 3 okuli Igara East MP Michael Mawanda, owa Elgon County Mudimi Wamakuyu ne Busiki County Paul Akamba,bavunaanibwa kwekobaana nebekomya ensimbi za government obuwumbi bwa shs 7.3, ezaali ez’ekibiina ky’obwegassi ekya Buyaka Growers Cooperatives Society Limited.
Ababaka basindikiddwa mu komera e Luzira okutuusa nga 09 July,2024, wamu ne Leonard Kavundira, omukungu wa ministry w’ebyobusuuubuzi avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi wabula ono tabaddeewo mu kooti, saako munnamateeka Julius Kirya Taitankoko.
Omulamuzi Joan Aciro asoose kubasomera emisango 5 egyekuusa kukuwuwuttanya ensimbi.
Kigambibwa nti wakati wa 2019 ne 2023 bekobaana nebawuwuttanya obuwumbi bwa shs 7.3 ezaali ez’okuliyirira ekibiina ky’obwegassi ekya Buyaka Growers Cooperatives Society Limited mu district ye Bulambuli.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Raymond Mugisa, Jonathan Muwaganya ne Edward Muhumuza bategezezza kooti nti okunoonyereza kwonna kuwedde ku musango guno.
Bannamaateeka b’omubaka Micheal Mawanga abakulembeddwamu Mwesigwa Rukutana ategezezza kooti nti babadde tebasobola kuyamba bantu babwe kuteekayo kusaba kweyimirirwa ku kakakulu kaayo, nti kubanga police yabalemesezza okwogera nabo.
Munnamateeka w’omubaka Paul Akamba agambye nti babadde nabo banoonya omuntu wabwe nga tebamulaba, olw’okumala ennaku 7 nnamba ng’akukuliddwa ab’eby’okwerinda.
Agamba nti banonyezza omuntu wabwe okuva lweyakwatibwa ku kooti, era kibeewunyisizza okuddamu okumulaba oluvannyuma lw’ennaku 7 ng’ayambadde essaati yeemu gyebaamukwatiramu, era nga yakosebwa ne mu bwongo, olw’engeri gyeyawambibwamu ku kooti.
Ababaka kati baweze 5 abali ku alimanda mu komera e Luzira, ku byekuusa ku nsonga z’eby’obulyake.
Abavunaaniddwa leero bagasse ku owa Bunyore East Yusuf Mutembuli, n’omubaka omukyala owa Lwengo Cissy Namujju.
Bisakiddwa: Betty Namujju