Omubaka omukyala owa district ye Lwengo Cissy Namujju n’owa Bunyole East Yusuf Mutembule basindikiddwa mu kooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi, bennyonyole ku misango egibavunaanibwa.
Omuwaabi wa government Jonathan Muwaganya asoose kwanjulira kooti mu bulambulukufu emisango egivunaanibwa ababaka bano, era omulamuzi Joan Aciro n’abongerayo mu kooti enkulu, wadde nga babadde bazze betegefu okuyimbulwa ku kakalu ka kooti.
Abababa bano bavunaanibwa wamu n’omubaka Paul Akamba akiikirira Busiki, wabula ng’ono yabuzibwawo ab’ebyokwerinda abaali mu ngoye eza bulijjo nga yakayimbulwa ku kakalu ka kooti nga 15 June,2024, nga n’okutuusa kati police egamba temanyi gyali.
Kooti eragidde Paul Akamba aleetebwe mu kooti nga 21 June,2024.
Emisango egibavunaanibwa kigambibwa nti baagizza mu 2023, nga batuula ku kakiiko k’eby’amateeka, bwebaaperereza ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya, okukkiriza bayambeko ekitongole kyakulira nti embalirira yakyo okuyisibwa mu kakiiko ka parliament ak’embalirira.
Mu nteeseganya ezaali zigenda mu maaso, baamusaba abateeremu omutemwa gwabwe gwa bitundu 5% basobole okumuyamba okuyisa embalirira ya Uganda Human Rights Commission.
Wabula enteesaganya gyezeeyongera, nebalinnyisa okutuuka ku bitundu 20%.
Oludda oluwaabi lugamba nti bino byonna byali bigenda mu maaso, baali bakwatibwa ku katambi akekusifu era akaliko obujulizi bwonna obubaluma.
Obujulizi obumu bulaga nti baatuula ku Elgon restaurant ku Hotel Africana gyebaali balina okukutula ddiiru yabwe.