Amagye ne police gakyagumbye mu Lubigi Nansana Ganda , okukakkanya abatuuze abaamenyebwa ennyumba zabwe,ababadde bavudde mu mbeera nga bawakanya eky’okubakubamu omukka ogubalagala.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma entobazi kyamenye ennyumba zonna eziri mu kitundu ekyo, ezigaambibwa okuba nga bannyizo beesenza mu ntobazi nebazimbamu amayumba.
Ab’ebyokwerinda okuyiibwa mu bungi kivudde ku babaka ba parliament ab’oludda oluvuganya government, nga bakulembeddwamu abakulira Joel Ssenyonyi okugenda okusaasiira abantu abaakoseddwa.
Abatuuze bagamba nti ekyokubakubamu omuKka ogubalagala n’okukuba amasasi mu bBanga kibaDde tekyetaagisa, nti kubanga babadde balina okutuusa ensonga zabwe eri ababaka basobole okubadduukirira.
Akulira oludda oluvuganya government Joel Ssenyonyi avumiridde ekyokukuba omukka ogubalagala mu bantu era nawanjagira ab’ebyokwerinda ensonga eno bajiggyemu ebyobufuzi.
Ababaka ba palamenti okuli Nakimuli Hellen ,Abubakar Kawalya,Mukasa Alozius,Betty Ethel Naluyima nabalala bagamba nti ekyakoledwa ku bantu be Nansana Ganda kigenda kwongera obumenyi bw’amateeka mu kampala n’emiriraano.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif