Abatuuze be Nakibanga e Kyamuswa mu bizinga by’e Ssese bakubiddwa omuyaga ogw’amaanyi ogumanyiddwa nga Ensoke.
Ennyumba ezisoba mu 50 zigwereddeku ttaka, ate endala zisuuliddwa mu nnyanja.
Ennyumba z’okumyalo ezisinga zizimbibwa mu mbaawo n’ebiwempe.
Abatuuze abakoseddwa basigadde mu byangaala n’ebintu byabwe.
Akulira essomero ly’abaana abato erya Precious Infants School Julius Ssekabira agambye nti embeera eno ebawalirizza okugira nga baggaddewo essomero okutuusa ng’embeera eteredde, nga batya nti ensoke eyinza okuddamu n’ekuba nekosa abaana, nti kubanga basomera mu kizimbe kya bbulooka.
Balaajanidde abakulembeze babwe okubayambako okubaddukirira bazeewo amayumba gabwe agasuulidwa kibuyaga.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif