Abantu 11 bafiiriddewo mbulaga, mu kabenje akagudde ku kyalo Namiryango mu District ye Kassanda.
Emmotoka No.605 eV ebadde etisse abasuubuzi ababadde bagenda mu katale k’omubuulo e Lubaali, neremerera omugoba waayo ku luguudo oluva e Mityana omudda e Bukuya.
Abalala abatanamanyibwa muwendo baddusiddwa mu ddwaliro ly’e Mityana General hospital ne Bukuya health Centre IV.
Omwogezi wa police Racheal Kawala agambye nti ekivuddeko akabenje tekinamanyika, nti kubanga ne ddereeva w’emmotoka adduse.
Abadduukirize bagamba nti ekkoona ewagudde akabenje lifuuse kattiro, olw’obubenje buzze bugwawo#