Ekitongole ky’amakomera kibakanye néddimu lyÓkulwanyisa obutabanguko obweyongera mu baweereza mu makomera okwetoloola eggwanga.
Enfunda nyingi ekitongole ky’Amakomera kibadde kyesanga mu buzibu obutagambika, olwÁbaweereza baakyo naddala ababeera baagalana okwesuulamu jjulume nebakubagana emiggo, amasasi nébirala, abamu nebattibwa naddala nga battibwa abaagalwa baabwe.
Obutabanguko buno mu baweereza mu Makomera bubadde tebusosola basajja na Bakazi, kuba bonna balina obusobozi obwetusaako obulabe olwébissi nga Emmundu, ebyambe, emiggo nÉbiso byebakozesa ku mirimu, nga kyangu nookutuusa obulabe ku bantu abalala.
Bwabadde aggalawo emisomo gyÓkubangula abaweereza mu Kkomera lya government erye Masindi ,Lydia Ssesanga nga yakulira okubudaabuda nÓkutabaganya abasowaganye mu kkomera, asabye abaserikale ababeera mu mbeera eyÓbuyinike bayambibweko nga obudde bukyali, kiziyize akabi akandiguddewo nga tewali kuyambibwa kwonna.
Omusomo guno gwetabiddwamu abakozi b’amakomera n’abagalwa baabwe.
Jimmy Omondi nga yakiikiridde abÉkkomera lye Arua Main asabye abaserikale ababa basowaganya okumanya nti bonna bali wansi wÁmateeka.
Era abajjukizza nÓkukimanya nti obutafuga busungu ke kamu ku bubonero obulaga nti n’emirimu gyebaabawa tebakyagisobola, okugyako okugyaabulira bakole ebirala, songa kino kigenda n’ebibonerezo.
Bisakiddwa: Kato Denis