Minister w’enguudo n’entabula mu ggwanga Gen. Edward Katumba Wamala awanjagidde abatuuze mu Kira municipality abaliraanye oluguudo olugenda okukolebwa mu nteekateeka ya Greater Kampala Metropolitan Area, okuwaayo akatundu kuttaka lyabwe omulimu gwokubakolera enguudo gusobole okutandika mu bwangu .
Omulimu gwokukola oluguudo luno gusuubirwa okutongozebwa mu mwezi gwa July 2024, wabula wakyaliwo abantu abatanassa mikono ku biwandiiko ebikkiriza okuwaayo ekitundu ky’ettaka omugenda okukolebwa oluguudo.
Gen.Katumba Wamala agambye nti abantu abaliraanye amakubo basaanye okwewala okuzimba okumpi ennyo n’amakubo, okwewala okufiirizibwa n’okuzingamya enkulaakulana.
Bino abyogeredde ku mukolo gw’okusimbula emisinde mubunabyalo egyategekeddwa ku ssomero lya Kira Church of Uganda primary school nga betegekera okukuza emyaka 100 bukyanga litandikibwawo.
Minister era asiimye abaaliko abayizi ku ssomero lino olw’okusitukiramu okuteeka enkulakulana ku ssomero mwebaayitira.
Agnes Nakimera Ssendagala omukulu wessomero lino asabye min Katumba Wamala okubayambako babateerewo olutindo olw’ebigere ku luguudo olukolebwa, kiyambeko abayizi babwe obutafuna bubenje olw’emmotoka eziweenyuka obuweewo ku luguudo luno.
John Bosco Kayongo nga yakulira abayizi abassomerako ku ssomero lino agamba nti beetaaga ensimbi eziwerera ddala obukadde 600 okuzimba ekisulo kyabaana nga kyakubeerako emyaliro essatu.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo