Eyali Omubaka wa president e Lubaga Anderson Burora Herbert asindikiddwa ku alimanda ku kkomera e Luzira, ku misango gy'okusiga obukyayi n'okuvvoola sipiika wa parliament Annet Anitah Among. Kigambibwa nti Burora...
Emmotoka y'amaggye ewabye neyingirira ekizimbe mu kitundu kye Kagoma, ku luguudo lwe Bombo, okuliraana essuundiro ly'amafuta erya Be energy petrol station . Lukululana y'amaggye No H4DF 2945 ebadde eva Kampala...
Eggye erikuuma omukulembeeze w'eggwanga erya SFC likutte musajja walwo agambibwa okulumba famire emu mu bitundu bye Namale mu ggombola ye Buwaya mu Distrct ye Mayuge nakuba abantu ba famile ye...
Abazigu b'emmundu balumbye ekyalo Namawubu mu gombolola ye Buwaaya mu district ye Mayuge, basindiridde amasasi abomunju ya Isaac Mudhaasi Buyinza, basse 4, nebalumya n'abalala 4. Sentebe we kyalo kino Siraj...
Ekitongole ky'ebibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics - UBOS kifulumizza ebyava mu kubala bannauganda nga bali obukadde 45,935,046. Emiwendo gino givudde mu kubala abantu mu Uganda okwakebwa okuva nga 9 okutuuka nga 26 May,2024....
Enteekateeka y'okukola oluguudo lwa Kajjansi - Bweya - Ddewe okutuuka e Lutembe mu nteekateeka ya greater Kampala Metropolitan Development Area Urban Development plan eyongeddwamu amaanyi. Abakulembeze okuva ku district ye...
Akakiiko ka parliament akalondoola entambuza y'emirimu mu bitongole bya government aka COSASE,kalagidde ssenkulu w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi ki NEMA Dr Barirega Akankwasa akatwalire ebikwata kubwannanyini bwa kampuni y'amafuta eya...