Abazigu b’emmundu balumbye ekyalo Namawubu mu gombolola ye Buwaaya mu district ye Mayuge, basindiridde amasasi abomunju ya Isaac Mudhaasi Buyinza, basse 4, nebalumya n’abalala 4.
Sentebe we kyalo kino Siraj Tenywa agamba nti baawulidde amasasi n’okwaziirana ku saawa 4 ezeekiro ekikesezza olwaleero nga 30 June,2024.
Abattiddwa kuliko semaka Mudhaasi Tenywa 42, abaana okuli Elesi Kafuko 15, Kantono Resty 13, ne Nickolas Mudhaasi 6.
Abapookya nebisago mu ddwaliro e Iganga kuliko maama wa baana Jesca Timugiibwa, n’abaanabe abalala basatu.
Tenywa agamba nti Mudhaasi azze abategezaako ku bolugandalwe abamwesoomera okumutusaako obulabe olw’e ttaka.
Sentebe we gombolola eye Buwaaya Hussein Kamaali asabye abatuuze bayambeko police esobole okuzuula abatirimbudde banaabwe mubukambwe.
Police ye Mayuge emilambo egitutte mu ggwanika lye ddwaliro e Mayuge, nga bwegenda mumaaso n’okunoonyereza.
Bisakiddwa: Kirabira Fred